Owobusobozi Omukama Ruhanga Bisaka akubirizza abantu okwettanira project za Gavumenti

Akulira enzikiriza y'Obumu, Omukama Ruhanga Owobusobozi Bisaka asabye abakkiriza kwosa n'abantu mu gwanga lino okwongera amaanyi mu kwettanira   entekateka. za gavumeti nadaala ezibaggya mu bwavu.

Ab'enzikiriza y'Obusobozi
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Akulira enzikiriza y'Obumu, Omukama Ruhanga Owobusobozi Bisaka asabye abakkiriza kwosa n'abantu mu gwanga lino okwongera amaanyi mu kwettanira   entekateka. za gavumeti nadaala ezibaggya mu bwavu.

Owobusobozi Bisaka okwogera bino asizinzidde ku mukolo ab'enzikiriza y'obumu gwebajagulizako olunaku lw'abaana oba olw'ebimuli  mu nzikiriza eno era nga omukolo gusoose na kuyisa ebivvulu nga bakumba,  nga enkola ab'enzikiriza y'obumu kwebebaliza Owobusobozi Bisaka olwo okubawa ebirabo bya baana.

Ab'enzikiriza y'Obusobozi nga bakung'aanye

Ab'enzikiriza y'Obusobozi nga bakung'aanye

Olunaku luno lwatandika okukuzibwa emyaka 38 egiyise nga lwava ku bakyala abali bamaze ekiseera ekiwanvu nga tebazaala olw'amalogo agali mu bintundu bye Bunyoro era nga  abakyala bano Owobusobozi beyawa ekirabo kyokuzaala.  okumwebaza nga bamutambuza mu lubu  olwe Muhororo nga bakutte ebimuli okulanga essanyu nga basitudde n'abaana baabwe nga bayimba oluyimba " Omukama Ruhanga Owamahe goona Muhikiriire tumukugize itwena" nga lutegeeza nti Omukama Katonda Ow'amagye gonna Mutukirivu, tumutendereze fena.

Ab'enzikiriza y'obusobozi nga bakung'aanye

Ab'enzikiriza y'obusobozi nga bakung'aanye

Mukuyigiriza  ku mukolo guno ku kisaawe kye bayita, Omukama Ruhanga Owobusobozi Bisaka International Stadium e Muhorro Kagadi, Owobusobozi kweyasinzidde n'akuutira abakkiriza obutava ku main mu buli program ya gavumeti wabula bagyetanire basobole okuganyulwamu ate yayongedde nabasaba n'okuwagira President Museveni ebiseera byabwe byona