Nnali mukyala mufumbo  ne nnoba naye nnemeddwa okufuna omusajja antwala

Nnina emyaka 40, nali mukyala mufumbo  ne nnoba naye nemeddwa okufuna omusajja antwala. Bwe nanoba abaana nabalekera kitaabwe era bali bulungi kubanga omukyala gwe yawasa abakuumye bulungi. Naye ebyange bigaanyi. Abasajja abasinga banjagalako nga baagala kwegatta nange kyokka suddamu kubalaba. Nkole ntya okufuna obufumbo? Ate abasajja sibaagalako ssente, wabula bufumbo kubanga nkola era ssente ze nfuna zimmala bulungi. Nnyamba ku nsonga eno.

Nnali mukyala mufumbo  ne nnoba naye nnemeddwa okufuna omusajja antwala
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Mwana wange kirungi abaana bali bulungi era ekyo okyebaliza Mukama kubanga abakyala bangi banoba naye abakyala abayingira mu maka bayisa bubi abaana. Kati mwana wange emyaka 40 emikisa egy’okufuna omusajja gibeera mitono  naye tekitegeeza nti tosobola kufuna musajja akuwasa.

Kubanga kati abasajja abasobola okukuwasa abasinga balina kubeera mu myaka nga 40 n’okusukkawo. Kati ate abo abasinga bafumbo. N’ekirala wano mu Uganda abavubuka be basinga obungi. Ffe abantu abakulu tuli batono ddala.

Kati emikisa egy’okufuna mukulu munno mitono naye ate abavubuuka emikisa mingi kubanga abavubuka bangi ate era bangi abatafuna babeezi. Naye ebyo byonna mbyogedde naye tekitegeeza nti tosobola kufuna musajja.

Ekisookera ddala olina okusooka okwetegereza musajja ki gwe weegatta naye. Kubanga abasinga kirabika bafumbo naye nga bakulimba nti si bafumbo. Ekirala ky’olina okumanya tekitegeeza nti buli musajja akukwana akwagala.

Kubanga olabika bulungi buli musajja akwegwanyiza naye nga takwagala. Okwegwanyiza kitegeeza ayagala kwegattako naawe. Ekyo kya butonde. Kati buli musajja akukwana sooka omwetegereze kubanga oyagala bufumbo weebuuze oba ddala anaakuwasa.

N’ekirala weeyambise ebintu nga internet ng’oyogera ebisaanyizo by’oyagala ku musajja tomanya oyinza okufuna akutwala. Ate buulira ku bantu be weesiga nabo basobola okukuyamba.

Naye nga ekikulu olina kwetegereza, kubanga  bw’oba ng’olina ssente zo waliyo abasajja abanoonya abakyala abalina ku kasente.

Ate n’abakyala ne batakirowoozaako nnyo ne babawa ssente naye ng’omusajja takwagala. Naye manya nti ku myaka gy’olina abasajja abasinga ku myaka egyo babeera n’abaana.