OMUBEEZI wa Bwannamukulu w’ekigo ky’e Mwereerwe, Fr. Simon Peter Kabenge yennyamidde olw’Abakristu abatakozesezza mwezi guno okusabira abantu ba ffamire zaabwe abaafa essira ne balissa ku kulindirira enseenene.
Klezia yalambika ng’omwezi gwa November bweguli ogw’okusabira abaafa wabula yeewuunnya okulaba nga waliwo abatakikola. Fr. Kabenge yabadde akulembedde Mmisa mu maka ga Brig. Gen. Vincent Ssefunka mu kusabira omugenzi Yowana Lwanga. Yagambye Abakristu balina okusabira abafu era bakiyigirize n’abaana baabwe.
Yeebazizza aba ffamire ya Yowana Lwanga okutegeka okusaba kuno. Omukulu w’oluggya olwo Brig. Ssenfuka yagambye nti abantu bwe basabira awamu kinywezza omukwano.