Poliisi mu Kampala etubidde n'omulambo gw'omusajja eyakooneddwa emmotoka n'afa.
Omusajja Ono, yabadde n'endagamuntu eri mu mannya ga Vicent Birungi nga mutuuze wa zzooni B mu muluka gw'e Makerere II e Kawempe mu Kampala era yazaalibwa nga January 1, mu 1964.
Densite ye bw'efaanana emabega.
Akabenje kaagudde kumpi ne Clock tower nga ku ssundiro ly'amafuta erya Total ku luguudo lwa Mukwano .
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, yagambye nti omulambo gwatwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Mulago ng'okunoonya emmotoka eyatomedde omusajja ono bwe kukolebwa.
Asabye bannannyini omuntu oyo okukwatagana ne poliisi ku nsonga eno.