Abaagala ekya Lubaga North boogedde

Nov 25, 2020

NG'OKUKUBA kampeyini kugenda mu maaso mu ggwanga wonna, bannabyabufuzi bali mu kusuubiza balonzi ensi n'eggulu, basobole okutengula emitima gyabwe okubawa obululu. Gye buvuddeko, okunoonyereza kwalaga nga waaliwo ensonga enkulu 5 ezisuza Bannakampala ku teebukye, mulimu; ebyobulamu, ebyenjigiriza, obwavu n'ebbula ly'emirimu, obutebenkevu bw'eggwanga ssaako enguudo n'ebyentambula ebibi.

Abaagala ekya Lubaga North boogedde

Vivien Nakitende
Journalist @New Vision

NG'OKUKUBA kampeyini kugenda mu maaso mu ggwanga wonna, bannabyabufuzi bali mu kusuubiza balonzi ensi n'eggulu, basobole okutengula emitima gyabwe okubawa obululu. Gye buvuddeko, okunoonyereza kwalaga nga waaliwo ensonga enkulu 5 ezisuza Bannakampala ku teebukye, mulimu; ebyobulamu, ebyenjigiriza, obwavu n'ebbula ly'emirimu, obutebenkevu bw'eggwanga ssaako enguudo n'ebyentambula ebibi.

Leero tukuleetedde abeesimbyewo mu kitundu kya Lubaga South, ekisangibwa mu munisipaali y'e Lubaga, olabe bye boogera ne bye basuubiza ku nsonga ezo eziruma Kampala. Eugenia Nassolo (DP) Ku byobulamu agamba ayagala eddwaaliro lya Kitebi erya gavumenti lyokka eriri mu kitundu okulitumbula ligaziyizibwe okutuuka ku mutendera gw'eddwaaliro eddene nga bw'olaba Kiruddu oba Kawempe abantu bongere okufuna empeereza esingawo n'okuteekamu eddagala nga teriggwaamu.

Okwongera okuteekawo pulojekiti mu kitundu eziwa abantu emirimu okugatta ku kkolero lye erisaanuusa pulasitiika ne bamukolamu payipu, nga zino zaakwongera okuwa Bannalubaga emirimu. Okuteekawo pulojekiti ezisomesa emirimu gy'omutwe omuli eby'enviiri, okukola engatto n'ebirala. Asuubizza okuleeta ebiteeso okukola emyala emibi n'enguudo embi mu kitundu kya Lubaga South. Paul Kato Lubwama (talina kibiina) Ye mubaka aliyo kati.

Ku ky'obwavu n'ebbula ly'emirimu, agenda asuubiza abalonzi nti agenda kwongera okugabira ebibiina by'obwegassi ssente okwongera okwekulaakulanya, okuyambako abavubuka okutandika emirimu n'okuyambako abantu ssekinnoomu okubafunira kapito okukola.

Okwo kw'ayongera okubategeeza nti ekisanja kye baddamu okumuwa kyakulya nti era buli aneenyigira mu kumuwenjeza akalulu alina foomu z'agenda okubawa ng'ataddeko n'omukono gwe nga zino ze bajja okumulaga ng'amaze okuyitamu abawe ssente balye bonna.

John Ken Lukyuzi (CP) Lukyamuzi agamba azze kulwanirira butonde bwa nsi, okufa ku bantu ng'abeera eddoboozi lyabwe eritatitiira okubatuusaako ebyetaago naddala okufuna mu nkola za gavumenti okusitula ebyenfuna byabwe. Ayagala okuteesa okuleeta enkola y'okwefuga mu bitundu nga; Buganda, Acholi n'ebirala nga byefuga byokka (Federo), olwo ebitundu bikole ku nsonga zaabyo naddala ebyenfuna n'okukendeeza emisolo ku mirimu gya wansi nga bamakanika, bakinyoozi baleme kuteekebwako misolo mikakali egibalemesa okukola.

Aloysius Mukasa (NUP) Ebyobulamu agamba ayagala buli bbanga lya mayiro emu wabeewo eddwaaliro lya gavumenti, eddwaaliro lya Kitebi Health Center nga lino lyerya gavumenti lyokka eriri mu kitundu waakulwana okulaba nga lisuumusibwa okutuuka ku mutendera gwa 'Hospital' nga bw'olaba Mulago oba Kawempe.

Asuubizza okuleeta ebiteeso n'okusakira Bannalubaga enguudo embi mu kitundu naddala olwa Ssuuna Road oluli mu mbeera embi zikolebwe kkolaasi. Obutebenkevu bw'eggwanga, agamba waakuleeta ebiteeso mu paalamenti, ebitongole ebimu ng'ekitongole ky'ebyokwerinda, ekiramuzi bibeere nga byetengeredde mu nkola yaabyo ey'emirimu bisobole okutebenkeza ebyokwerinda by'eggwanga, nti ate singa abangula abavubuka ne bafuna eby'okukola baba tebasobola kwetaba mu bikolwa bikyamu.

Siraje Kifampa Nsambu (JEEMA) Asuubiza okutereeza ensonga z'abantu abakola emirimu gya wansi omuli obutale ne ggaragi okulaba nga tebagobaganyizibwa we bakolera, ebyenfuna by'abantu bireme okutaataaganyizibwa. Okuteekawo pulojekiti mu buli muluka ezigaba emirimu n'okuyigiriza abavubuka okutandikawo emirimu egy'enjawulo, ate na buli alina omulimu gw'akola amuyambeko okufuna ebbaluwa emukakasa mu bukugu obwo bw'akola.

Ebyobulamu asuubiza okuteesa okulaba nga bongera ku bungi bw'omuwendo gw'amalwaliro ga gavumenti mu kitundu okuva ku lya Kitebi lyokka eririyo. Ebyenjigiriza asuubiza okulondoola enkola y'emirimu mu masomero ga gavumenti n'okugongeramu amaanyi gatumbuke mu by'ensomesa n'endabika.

Derrick Lufunya (talina kibiina) Agamba looya omutendeke azze okulwanirira eddembe ly'obuntu okulaba nga libaawo mu kitundu n'enfuga egoberera amateeka nti bino byonna bwe bibaawo mu ggwanga, ebirala omuli ebyobulamu, ebyenjigiriza n'ebirala byonna biba bitambula bulungi.

Kenneth Charles Male (NRM) Agamba omubaka wa palamenti takola nguudo, wabula aleeta ebiteeso ebigasa ekitundu kye, asuubiza okuleeta ebiteeso ebigasa bannalubaga, ebiteeso ebikola ku bizibu bya Lubaga okulaba ng'enguudo embi naddala olwa Ssuuna Road zikubibwa kkolaasi.

Abasuubiza nti bwe bamuwa akalulu baakugayulwa mu buli nteekateeka za gavumenti, ku byobulamu, ebyenjigiriza okulaba nga byongera okusituka. Dennis Mbidde Ssebuggwaawo, talina kibiina; Ku ky'obwavu asuubiza okuleeta enkola y'okusomesa abantu obukugu bw'okukola ssente, abavubuka okubayigiriza okukola emirimu egy'enjawulo n'abakola beetaaga okubongeramu kapito nga bino waakubibakolera kubanga akolagana ne bbanka ez'enjawulo.

Asuubiza okubangula abantu mu byenfuna bayige engeri y'okukolamu ssente, okutumbula eby'emizannyo kyongere okuwa abavubuka emirimu, eddwaaliro lya Kitebi Health Center okuligaziya lisobole okuyamba abantu abangi n'okubasakira obuyambi mu mikwano gy'alina emingi okwongera okukola ku bizibu byabwe.

Adam Mugga Swift (talina kibiina) Agamba ekizibu ekisinga mu bantu bwe bwavu, ate ng'obwavu ye nsibuko ya buli kikolobero, asuubiza okuwa Bannalubaga ssente okutali magoba wadde omusingo beekulaakulanye. Agamba era nti waakuleeta etteeka mu palamenti bateekewo ssente ezisobola okuyamba ku bantu okweggya mu bwavu.

Grace Nakanwagi (talina kibiina) agamba ayagala okufunira BannaLubaga akatale k'ebintu eby'enjawulo bye bakola, okwongera ku bungi bw'amasomero ga gavumenti n'okwongera okufiibwako, okulwanirira enguudo okukolebwa, n'emyala. Samuel Walter Lubega Mukaaku, (talina kibiina) Asuubiza okuba eddoboozi eddene erya Bannalubaga atakyukakyuka, okwogera ebizibu byabwe mu palamenti ku byobulamu n'ebyenjigiriza okulaba nga wabaawo enjawulo, okwongera ku bungi bw'amalwaliro ga gavumenti n'okuyamba abantu abakola emirimu gya wansi nga mu butale obutagobwa ku ttaka kwe bakolera.

Habib Buwembo (FDC) Asuubiza okulwanirira abantu ba wansi abanyigirizibwa, okulwana okulaba nti tebateekebwako misolo gisusse, okubalwanirira obutagobwa mu bifo we bakolera. Buli muluka okubaamu essomero lya gavumenti n'okulaba ng'eddagala mu ddwaaliro lya gavumenti erya Kitebi libeeramu n'okulwana okulaba nti ligaziwa kyongere ku mpeereza y'obujjanjabi.

Okulwana okulaba ng'omwala gwa Nalukolongo Channel gukolebwa ogubadde gusaasaanya amazzi mu mayumba g'abatuuze n'enguudo ezitannakubibwa kolaasi okulaba nga zikolebwa basobole okukwatibwa. Enguzi kye kizibu ekisinze okugootaanya eby'okwerinda era kiremesa enkulaakulana, nze ndowooza nti gavumenti yandiyongedde amaanyi mu kuteekawo bambega ne balondoola abalya enguzi.

Siraji Lukwago ow'e Jinja: Nze ebitongole bya gavumenti ebikuuma ddembe mbisiima olw'omulimu gwe bikola naye nsaba nti gavumenti esse essira ku baserikale baayo be basindika okukwata abantu nti basooke kweyanjulanga ne densite zaabwe eri omuntu yenna ate bakwate abantu awatali kukozesa lyanyi.

Ffe ng'abantu tulina okwetereeza kubanga abeebyokwerinda tebakuuma bisolo, bakuuma bantu, tulina okwongera okutereeza enkolagana n'abatwala ebyokwerinda. Okuleeta obukuubagano abantu ne batuuka okulwanagana n'abeebyokwerinda nga babakwata bwe babatuukako tebabeeyanjulira bwe batuuka bamukwata bukwasi naye n'asalawo okwerwanako.

Kisaana okwongera ku bambega abasobola okulondoola ebintu ne babimanya nga tebinnaba kugwawo kitusobozese okutangira ebitannagwawo okusinga okuvaayo okubirwanyisa nga bimaze okutuukawo.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});