TRACY MELON yeekandazze n’ava ku siteegi lw’omu ku badigize okweyisa mu ngeri gy’ataasiimye.
Ku Ssande, yabadde alina ebbaala emu gy’ayimbako mu bitundu by’e Mbarara.
Omuziki bwe gwakukutte akati era ng’abadigize bwe banyumirwa endongo ye ng’akuba akayimba ka ‘Kakkana’, waliwo omudigize omu eyalabise ng’ayabadde atamidde eyamukubye oluyi ku kabina.
Yasoose kumulabiriza ng’akyuse atunudde ku ludda olulala, n’asooba okulumukuba. Embeera eno yamunyiizizza era n’amukyukira n’amuyisaamu oluyi.
Olw’obusungu, yasoose n’asiriikiriza okuyimba nga bw’alowooza ekiddako era wano we yakomye n’ava ku siteegi.