Kasalabecca

Shahaba Kasumba asiibuludde abasiibi n'omuziki gw'ensasagge ku Calendar e Makindye

Abadigize baeeyize ku Calender Hotel e Makindye mu kivvulu ky'omuyimbi Swahaba Kasumba kye yatumye 'Mwebale okusiiba, era zaagenze okuwera ssaawa 10 ez'olweggulo ng'abantu bakkalidde dda ne batandika okusanyusiba ab'amataali.

Shahaba Kasumba asiibuludde abasiibi n'omuziki gw'ensasagge ku Calendar e Makindye
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Oluvanyuma batandise okusanyusibwa abayimbi abenjawulo okwabade ne banakatemba okwabade Dr T ne  Bizonto nabalala abasezezza abantu.

Abayimbi abalala abaacamudde abantu kwabaddeko Sir Mathais Walukagga, Abdul Mulaasi, Stabua Natoolo, Hanson Baliruno,  Ykee Bender , Kazibwe Kapo , Evelyne Lagu,  Ameria Nambala, Saniyo n'abalala.

Abadigize baanyumiddwa byansusso era omugagga Nobert  'Events' obwedda afuuwa buli muyimbi alinnya ku siteegi. Ono era yeeyamye n'okussa mu ssente luyimba lwa Saniyo olwa 'Maama' balukwate ku vidiyo ku bwereere.

Swaba Kasumba eyabadde omuyimbi w'olunalku yalinnye ku siteegi wakati mu bawagizi be okuwaga n'okusaakaanya.

Ono yazze ne byanabiwala ebizinira ku mataali nga binyeenya ebiwato okukira enje, Swahaba Kasumba n'alyoka abasinsimula endongo.

Baamufuuye ssente era mu kwogerako gye bali n'abeebaza abamubeereddewo olwo ekivvulu ne kiggalibwawo.

Tags: