Pretty Amiirah 6, asambira mabega nga jjanzi oluvannyuma lw’okuwangula engule y’omuyimbi omuto asinze okukooka omwaka guno.
Engule eno yajiwangudde mu awaadi eza Young Talent Awards ezaabade mu kibuga Dubai wakati mu kuvuganyizibwa okwamaanyi okuva mu mawanga okuli Nigeria, South Africa, Kenya, Tanzania kwossa Ghana ne Senegal.
Amiirah ku emyaka emito mu njogera ennyangu oyinza okugamba nti byona abikoze anti ng'oggyeeko eno awaadi, musaayi muto ono alina endala gye yawangula okuva mu ensi ya Ghana ey’omuyimbi atandika ow’omwaka.

Takoma ku kuyimba kwoka, Amiirah alina n’ekitone ky’okuwandiika era gyebuvudeko yawandise era natongooza akatabo k’abaana akapya akamanyidwa nga ‘Best Friends’ Myra and Mimi’.
Bw’osomera bino, Amiirah yaakamala okuta vidiyo y’oluyimba lwe ‘Keep on Moving’ era lw'atambuza.
Ennyimba endala zaafulumizza kuliko; Kampala nga enyize nze n'endala.

EBIRALA EBIKWATA KU MWANA ONO