Akabaga k'okujaguza n'okwebaza Katonda bakakoledde mu disitulikiti y'e Kiruhura ku mabbali g'ennyanja Kakyeera (Lake Kakyeere) ne baddamu buto okukuba ebiragaano mu maaso ga bazadde baabwe, abooluganda n'emikwano ababaddewo ku mukolo guno.
Janet Kataaha Museveni, nnyina wa Patience era nga ye Minisita w'Ebyenjigiriza yeebazizza Katonda olw'okutuusa Patience ne Odrek ku kkula ly'emyaka 20 mu bufumbo obutukuvu.
Wano nga basala keeki
Mukyala Museveni era yeebazizza Odrek olw'okukuuma ekigambo kye n'alabirira Patience n'okumwagala ebbanga lyonna.
Maama Janet era yeebazizza Katonda olw'emirembe n'obutebenkenvu by'awadde Uganda nga buli ssekinnoomu asobola okukkakkalabya emirimu gye awatali mbeera ya ddukadduka.
Janet Museveni ng'ayogera ku mukolo gwa muwala we Patience. Amuli emabega ye Pulezidenti Museveni, kitaawe wa Patience
Maama Janet Museveni ku mukolo
Ate Pulezidenti Museveni naye abaddewo ku mukolo yeebazizza Patience ne Odrek okukuumagana okumala emyaka 20 mu bufumbo.
Museveni ategeezezza nti muwala we Patience kuva buto nga mwana wa mirembe n'abeebaza olw'okukulaakulanya ekitundu mwe bawangaalira ate n'abakubiriza okwongera okussa ettoffaali ly'enkulaakulana mu kitundu kino.
Patience ne bba Rwabogo nga bali mu maaso ga bazadde baabwe
Pulezidenti Museveni ategeezzezza nti abadde Katonda akuumye abaana be okuviira ddala mu buto wadde nga baayita mu kusoomoozebwa olw'olutalo lw'ekiyeekera lwe baalwana okununula eggwanga Uganda.
Museveni era yeebazizza Katonda eyabayamba okuyita mu mbeera eyo ate Katonda y'omu era ayambye abaana be okukulaakulana.
Patience nga ye Musumba w'ekkanisa ya Covenant Nations Church ng'ali n'omwami we beebazizza Katonda abayambye okukuumagana okumala emyaka 20 ate n'abawa n'ezadde ly'abaana.
Patience ne Odrek nga bajaguza emyaka 20 mu bufumbo ku mukolo oguyindidde ku mabbali g'ennyanja Kakyeera mu disitulikiti y'e Kiruhura
Patience ne bba Rwabogo nga baddamu buto okukuba ebiragaano by'obufumbo
Ebikujjuko by'okusaba kw'okwebaza bikuliddwaamu Bp. Lwere ng'ayambibwako Paasita Wilson Mugarura.
Bp. Lwere oluvannyuma akulembeddemu Patience ne Odrek ne baddamu buto okukuba ebiragaano wakati waabwe ne mu maaso ga Katonda.
Odrek ne Patience baafumbiriganwa nga July 20, 2002 gy'emyaka 20 egiyise.
Abamu ku bagenyi abayite abeetabye ku mukolo guno