Oxlade akakasizza Bannayuganda nti muka

OMUNIGERIA Oxlade eyayimba Kulosa akomyewo mu ggwanga n’akuba abadigize omuziki ng’abeesasuza obutayimba omulundi gwe yasembayo okujja wanno.

Oxlade akakasizza Bannayuganda nti muka
NewVision Reporter
@NewVision
#Kasalabecca

Omanyi Oxlade ono yalina okuyimba ku Cricket Oval ne Beenie Man gye buvuddeko kyokka n’atayimba nga abamu bagamba nti omutegesi teyamusasula kumumalayo.

Oxlade ng'akuba Bannayuganda omuziki.

Oxlade ng'akuba Bannayuganda omuziki.

Ono yagenda ku mikutu gye n’ategeeza nga pulomoota eyali amutegese bwebyali takoze bulungi okumusobozesa okuyimba kyokka n’asuubiza abawagizi be Bannayuganda okukomawo. 

Tewaayiseewo yadde emyezi ebiri ng’ono ate akomyewo mu ggwanga mu kivvulu kye baatuumye Party in the Park ekyabadde ku Zoe Grounds e Lugogo ku wikendi. 

 

Oxlade ng’ali wamu ne Ckay baakubye abadigize omuziki ne babaleka nga bamatidde anti bakira basuulamu obumu ku buyimba bwabwe olwono abawagizi ne bafa essanyu ng’eno bwe batema dansi. 

Banno baawerekeddwako Bannayuganda okwabadde Joshua Barrak ne Rickman. 

Login to begin your journey to our premium content