Omuzannyo 'Omuzadde tagulwa gucamudde abalabi ku Bat Valley

ABANTU banyumiddwa omuzannyo ‘Omuzadde Tagulwa’ ogwazannyiddwa aba Pearl Screen Pictures Uganda ku Bat Valley Theater.

Omuzannyo 'Omuzadde tagulwa gucamudde abalabi ku Bat Valley
NewVision Reporter
@NewVision
#Kasalabecca #Bat Valley #Balabi #Bukedde tv #Muzannyo

ABANTU banyumiddwa omuzannyo ‘Omuzadde Tagulwa’ ogwazannyiddwa aba Pearl Screen Pictures Uganda ku Bat Valley Theater.

Ekibinja ky’abamu ku bazannyi bano abaacamudde abalabi, baazannye ng’omu ku baana b’omugagga omuwala abadde alowooza nti yamala olw’okuba kitaawe binojjo, kyokka nnyina n’akamutema nti taata we asikaali, akuuma geeti awaka.

Pearl Screen Pictures yaleese byanabiwala ebitiba ku siteegi ebyabadde mu muzannyo guno. Abaasinze okuzannya, dayirekita w’ekibiina, Jude Baamundaga yabakwasizza ekikopo ne yeebaza abantu abazze okulaba omuzannyo n’okubawagira n’agamba nti bakyagenda mu maaso nga bafumbira Bannayuganda ebinyuma era bakyawandiisa abazannyi abalina ebitone mu kuzannya emizannyo.

Login to begin your journey to our premium content