Omuyimbi Sheikh Yusuf Ssemakadde amanyiddwa nga SEMKDEE atandise kaweefube w’okuyamba Abasiraamu n’okukulaakulanya omuzikiti gwa Masjid Sayyed Muhammad Shah – Bulwadda Islamic Centre e Naluvule - Wakiso.
Ssemkdee Sausi
Omuzikiti guno gwabbulwa mu Jjajja waabwe Abudalaziz Nsubuga Bulwadda eyawaayo ettaka n’okulaba nga guzimbibwa.
Bwe baabadde bakomekkereza ekisiibo, Semkdee yasiibuludde Abasiraamu ku muzikiti guno n’okugulambula nga bwe batema empenda n’abagukulira n’okukunga Abasiraamu b’omu kitundu, mu ggwanga n’ensi z’ebweru.
Bano baagala okubakwatizaako ku mulimu gw’okugugaziya, okukulaakulanya ekifo kino nga bateekako essomero, okuzimbawo kaabuyonjo ey’omulembe, okuddaabiriza Nayikondo ebayamba ku mazzi n’okusiba ekikomera ku ttaka lino okutangira abalyegwanyiza n’ababbi abatwala ebintu by’omuzikiti naddala abavubuka abanoonya sikulaapu.
Semkdee yagambye nti mu kiseera ky’ekisiibo Abasiraamu abasaalira mu kifo kino tebalina bye basiibulukukirako n’ebikozesebwa ng’ate buli lunaku wabeerawo abasiibi abasukka mu 100 n’asaba abalina okubayambako n’eby’okulwa, okunywa, enku ezifumba n’ebintu ebirala ng’amasowaani n’ebikopo.
Yabadde ne Imam Ibrahim, Sheikh Umar Kasumba n’akulira abakyala Abasiraamu ku muzikiti guno.
Bagambye nti beetaaga okutandika ku mulimu gw’okuzimba essomero mu bwangu okusomesa abaana eddiini n’eby’ensi okutumbula ebyenjigiriza mu kitundu kubanga kikwasa ennaku abaana baabwe okusomera mu masomero g’amadiini amalala ng’ate balina ekifo we bayinza okuzimba agaabwe.
Semkdee yategeezezza nti mu baawulidde omulanga gw’okuzimba omuzikiti guno mulimu Omusiraamu okuva mu ggwanga ly’e Botswana, Muhammad A Chandi eyabasuubizza okubayamba okulaba ng’omuzikiti guno baguzimba n’okukulaakulanya ekifo n’asaba n’abalala okumwegattako.