SHAMIM Murerwa amanyiddwa nga Omega 256, yategese ekivvulu gye buvuddeko e Lugogo era yakikubye.
Wabula omuwala ono, atabukidde, abamwogerera ebijweteke nti ate mu kifo ky’abantu okwereeta mu kivvulu kye, ye yasombye basombye mbu era bbaasi ezijjudde abantu, zaalabiddwaako nga zeesaza e Lugogo okumpi ne we yategekedde ekivvulu.
Bino bye binyiizizza, Omega 256 n’ategeeza nti byogerwa batamuwagira okumuzalawa.
Agattako nti ate abasinga ku bano bayimbi, abayimbidde emyaka emingi nga tebammuka era nga ne konsati zaabalema okutegeka.
Agamba nti bwe banaamuyitirirako, waakubaatula amannya gaabwe ensi ebamanye.