Omuyimbi Judith Babirye atandise obulamu obupya mu Canada

JUDITH Babirye atandise obulamu obupya. Avudde mu by’okubeera yekka n’asisinkanaBannayuganda e Canada ku mukolo ogwabaddeko ne William Ntege amanyiddwa nga Kyuma kya Yesu n’omuyimbi Emperor Orlando eyayimba N’akonkona.

Omuyimbi Judith Babirye atandise obulamu obupya mu Canada
By Josephat Sseguya
Journalists @New Vision
#Judith Babirye

Bya JOSEPHAT SSEGUYA

JUDITH Babirye atandise obulamu obupya. Avudde mu by’okubeera yekka n’asisinkana
Bannayuganda e Canada ku mukolo ogwabaddeko ne William Ntege amanyiddwa nga Kyuma kya Yesu n’omuyimbi Emperor Orlando eyayimba N’akonkona.

Babirye yayitidde mu mikwano gye embeera gy’ayiseemu bukya agenda mu Amerika mu 2019 gye yava okudda e Canada.

Yazzeemu okwetonda olwa kye yayise ensobi ze yakola okuli okuyingira ebyobufuzi
n’okufumbirwa Paul Sebulime Musoke eyalina mukazi we omulala.Wiiki ewedde yeetondera Nnaalongo Rukia Ntale muka Sebulime.

Baabadde Basabira Judith Babirye (afukamidde).

Baabadde Basabira Judith Babirye (afukamidde).

Kyuma Kya Yesu (ku Kkono), Omusumba Kazibwe Ne Judith Babirye (owookubiri Ku Ddyo) Oluvannyuma Lw’okusaba

Kyuma Kya Yesu (ku Kkono), Omusumba Kazibwe Ne Judith Babirye (owookubiri Ku Ddyo) Oluvannyuma Lw’okusaba

N’agamba nti kati atandise obulamu obuggya okudda ku layini y’okusitula ekitone kye
eky’okuyimba n’okuweereza Katonda. Bannayuganda baamugumizza nti bali mabega we.

Abaabadde ku mukolo kuliko Kyuma kya Yesu eyali akola ku ttivvi. Yasinga kusooka kufuna ttutumu bwe yagoba Simeo Nsubuga eyali omubaka wa Kassanda South mu Palamenti ku mukolo gw’amatikkira ga Kabaka egyali e Mubende nga July 31, 2017.

Oluvannyuma yeegatta ku kibiina kya NUP mu kulonda kwa 2021. Y’omu ku baakwatibwa e Kalangala nga bawerekedde Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) mu kampeyini mu December wa 2020. Kyokka bwe baamuta n’agenda e Canada gy’ali kati.

Abantu baamwekanze mu bifaananyi ng‘ali ne Judith Babirye mu kkanisa y’Omusumba Robert Kazibwe eya Dominion Church International e Canada.

Kazibwe yasabidde Babirye eyazzeemu okwenenya olw’ebyo byonna ebibaddewo.