Mwana muwala ate nga muyimbi, Carol Nantongo avuddeyo n’asambajja ebyogerwa abantu ku mikutu emigattabantu ne bannamawulire nti omuyimbi Stecia Mayanja ye yamuloga.
Carol Nantongo (EKifaananyi kya Gats Mc Photography )
Nantongo agambye nti ebitambula ku mikutu gino abantu abamu tebaabitegeera bulungi ye nsonga lwaki kati babikyusizza n’okwongeramu by’ataayogera.
“Eyangamba nve ku siteegi si ye yankola bino ebyantuukako. ‘Social media’ yataddemu n’ekirala kye saayogedde”
Yagambye nti bye yayogera byonna ebyamukolebwa byamuyisa bubi era ye nsonga lwaki yabyogeddeko. Wabula, asambazze ebyogerwa nti alina omuntu gwe yali ’ayagala okukomerera, olw’okuba yayogera erinnya lya Stecia nti yamugoba ku siteegi.
Yasabye abakyusa ebigambo baddeyo balabe sitetimenti ze yakola mu yintaaviyu baazaawule bulungi kubanga ye takyogerangako nti Stecia ye yamuloga, wabula okumugoba ku siteegi bwe baali ku Freedom City.