Omuyimbi omu South Africa Costa Titch 27, ng'amannya ge amatuufu ye Costa Tsobanoglou afudde kikutuko bw’abadde ayimba ku siteegi.
Costa Titch Lwe Yali Ne Sheila Gashumba.
Ono afudde ekiro ekikeesezza Ssande bwe yabadde ayimba ku kivvulu kya Ultra South Africa Festival ekyabadde mu kibuga Johannesburg ekya South Africa.
Kigambibwa nti ono yagudde emirundi ebiri kyokka ogwasoose yayimuse era n’ayongera okukuba abantu omuziki kyokka ogw'okubiri teyayimuse era n'afa.
Costa Titch abadde mukubi w'omuziki oguliko ogwa Amapiano ogunyumira ennyo Bannayuganda abamu era ng'amanyiddwa nnyo olw'eNgeri gy’azinamu ng'ali ku siteegi ecamula ennyo abadigize.
Costa Titch K Ng'ayimba.
Omwaka oguwedde yajja emirundi ebbiri wano mu ggwanga nga ogwasembyeyo yabadde ku Garden City Rooftop ng'ayingiza abantu omwaka 2023.