Bannakampala abali ba kkaasi bakyekoze mu kivvulu kya Best of Kampala ne beekeesa mu nnyambala n’okusaasaanya 'enthimbi'.
Ekivvulu kino kyabadde ku bbaala ya Laparonis mu Kampala eggulo ku Ssande mu kiro ekyakeesezza ku Mmande era kyetabiddwako baana bawala n’abavubuka abategeera akazannyo k’okulya ssente n’okunyumirwa obulamu.
Omukazi Ng'anyumirwa Omuziki Bwe gwabadde gumulinnye mu kivvulu kino.
Newankubadde ng’enkuba yatonnye nga n’obunnyogovu bungi, tekyalemeseza bawala kwesala bugoye obulagako emibiri ate nga baasigadde bagondedde amateeka g’ekivvulu ag’okwambala ebyeru.
Irene Ntale Ng'ayimba.
Bakira bano buli ayingirawo ng’aggyayo essimu okwekubya ebifaananyi mpozzi n’okwekwata obutambi okuteeka ku mutimbagano mu ngeri y’okusoomooza abataagenzeeyo.
Bebe Cool Bwe yabadde Ayimba Mu Best Of Kampala.
Obwedda abatuula ku mmeeza nga batumya emyenge gya bbeeyi gyokka. Ekyabadde kyewuunya ng’ecupa oluba okutuuka mu mmakkati nga batumya endala.
Byana Biwala Ebyanywa Amata Nga Bitema Dansi.mpala
Abayimbi okwabadde BebeCool, Irene Ntale, Abeeka band, n’Omunigeria Simi baabasabudde endongo ekiro kyonna okutandika ku ssaawa 6:00 okutuusa ku 9:00 ogw’ekiro wamma gwe ne banyumirwa bya nsusso.
Omudigize Nga Yeekubya Selefi Ne Winnie Nwagi.
Ba Dj okwabadde Denzel, Dope Ceaser okuva e Nigeria, Dj Jose n’abalala baasumuludde endongo okutuusa mu ssaawa 11:00 ez’oku makya eyaggye abadigize mu ntebe ne batandika okwenyenyezaamu ku galibenjole.