Omukazi eyatwala ekyapa kya Mayinja akyeremye

OMUWALA omusuubuzi w’omu kibuga Kampala, Joy Nagawa eyatwala ekyapa ekiriko n’ennyumba eby’omuyimbi Ronald Mayinja akyeremye.

Mayinja ne Nagawa eyawamba ekyapa ky'ennyumba ye
NewVision Reporter
@NewVision
#Ronald Mayinja #Joy Nagawa #NRM #Jamil Kazibwe #Masaka #Lwengo

OMUWALA omusuubuzi w’omu kibuga Kampala, Joy Nagawa eyatwala ekyapa ekiriko n’ennyumba eby’omuyimbi Ronald Mayinja akyeremye.

Kuno agasseeko n’okulumya, bw’ayanjudde omukwanaganya wa NRM mu disitulikiti y’e Masaka, Jamil Kazibwe ku mukolo ogwabadde mu maka g’abazadde b’omuwala e Buyoga Kiwanga mu disitulikiti y’e Lwengo.

Nagawa, amanyiddwa nga Jojo K, yalumiriza omuyimbi Mayinja okumutiisatiisa n’okwagala okumuggyako ekyapa ky’ettaka kye yamuwa ng’ekirabo bwe baali bakyalina enkolagana ey’enjawulo.

Kyokka oluvannyu- ma lw’emikolo gy’okwanjula, Jojo, yategeezezza nti ababadde balo-
wooza nti olw’okukola emikolo Mayinja ayinza okumusinza amaanyi n’amutwalako ekyapa balimba kuba ekyapa kikye bwoya wabula n’agamba nti singa Mayinja anaayita mu nkola entuufu ng’omuntu asobola okuteesa naye wabula bwe kigaana talina kyakumukolera, ajja kusigaza ekyapa kuba kati kikye

Login to begin your journey to our premium content