Oluwombo lw'enkoko ennamba lukamudde omuko akatuuyo

AKALOMBOLOMBO k'omuko okumalawo oluwombo lw'enkoko olumugabuddwa ku buko gy'ayanjulwa katuuyanyizza omuko Ablaheem Lukwago naddala bwe bamutiisizza nti bw'atalumalaawo tabeera musajja.

Oluwombo lw'enkoko ennamba lukamudde omuko akatuuyo
By Ssennabulya Baagalayina
Journalists @New Vision
#Masaka #Kukyala
Ssenga Regiina Namanda olumaze okwanjula Lukwago ng'omwami we atwala muwala we omumbejja Sharifah Nasuuna y'amusimbye oluwombo lw'enkoko ennamba kw'amugatidde eby'okulya ebirala. .
      
Asoose kumugabula olwendo lw'amazzi n'emmwanyi ez'entabaluganda aganywereddwako nga ne disitulikiti Kadhi wa Masaka, Sheikh Badiru Wasajja Kiruuta abaddewo mu linnya lya Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Mubajje.
     
Wadde asonze n'agomu buto naye era emulemeddewo olwo n'akkirizibwa okugiwaako abamuwerekeddeko.
 
Omuko Noluwombo (5)

Omuko Noluwombo (5)

Omuko Noluwombo (6)

Omuko Noluwombo (6)

Omuko Noluwombo (2)

Omuko Noluwombo (2)