OMUYIMBI Bebe Cool yabadde mu Zoo e Ntebe ne ffamire ye ku wiikendi era abamu ku bantu be baasaanzeeyo, bakira bafiirawo okwekubya naye ‘selfie’.
Ne Simo omunene w’omu kibuga, omuweereza ku Bukedde Fa Ma, teyalutumidde mwana.
Ono yamaze akaseera ng’awayaamu ne Bebe Cool, ekyaleetedde abamu okwebuuza k’abaza.
Abamu kwe kugamba nti osanga amusaba amuyimbire ku kivvulu ky’ategese ku Ssekukkulu mu kifo kino kyennyini.