KYABADDE kijjobi ku Lwomukaaga e Munyonyo, ng’abayimbi ne bannabitone ab’enjawulo basoosootola alubaamu y’ennyimba 13 ezinaakozesebwa mu kampeyini za Museveni.
Olutambi luno olwa Yoweri Music Album, lwakoleddwa abayimbi abeegattira mu kibiina kya Uganda National Musicians Federation ekikulemberrwa omuyimbi Eddy Kenzo era eyakoze enteekateeka z’okuyita Pulezidenti Yoweri Museveni ne mukyala we, Janet Kataha Museveni, okulutongoza.
Chamilli, Stecia Ne Nabbanja.
Wabula Stecia yatuuse ku mukolo guno, ng’abeekibiina kye baamugoba lwa kuyimba ku mukolo gwa NRM. Ku mukolo guno ogwabadde e Munyonyo, Stecia Mayanja bakira yeesaza n’akiggumiza
nti abaamugobye mu kibiina, be bamanyi nti era ye waakugenda gye bamwagala.