MUN G akomyewo okuva mu luwummula n’awaga okulaga amaanyi. Amannya ge amatuufu ye; Mungi Emmanuel Matovu era ye yayimba; Ontwala sipiidi, Sala puleesa n’endala.
Agamba nti yali yeewummuzzaamu ku bya myuziki okumala emyaka ebiri ng’ayagala okubaako ebirala by’akola ebinaamuyamba mu maaso. Ebiseera ebisinga, abadde abimala mu kulunda nkoko e Kabembe era yalabye
nga y’essaawa okudda mu kisaawe ky’okuyimba mu bujjuvu.
MunG agamba nti ng’ovudde ku by’okuyimba, asuubira okukuba mukyala we embaga eneemenya ebitooke.