Mesach asekeredde abalowooza nti omuziki gwa bbandi gwaggwaako

ABABADDE bawoza mbu myuziki wa bbandi yagwa, Mesach Ssemakula abasekeredde n’abagamba nti ye ssaawa beetereze mu ngeri gye battannyaamu ensonga.

Mesach asekeredde abalowooza nti omuziki gwa bbandi gwaggwaako
By Ignatius Kamya
Journalists @New Vision
#Kasalabecca #Kamya

Ababadde bawoza mbu myuziki wa bbandi yagwa, Mesach Ssemakula abasekeredde n’abagamba nti ye ssaawa beetereze mu ngeri gye battannyaamu ensonga.

Mesach Ng'ayimba Ku Big Zone E Nansana.

Mesach Ng'ayimba Ku Big Zone E Nansana.

Okwogera bino Mesach yabadde Zana ku wooteri ya Front Page ku Ssande bwe yabadde akomekkerezza ebivvulu bye ebya Mesach at 46 mwe yafunidde abantu abangi kyenkana mu buli kitundu mwe yayimbidde.

Mesach Ng'acamula Ab'oku Big Zone E Nansana.

Mesach Ng'acamula Ab'oku Big Zone E Nansana.

Wikendi yagimazeeko adigiza Bannakampala. Ku Lwomukaaga yali Nansana ku Big Zone ate ku Ssande n’agenda e Zana.

Omuzeeyi Ng'asitudde Omukazi.

Omuzeeyi Ng'asitudde Omukazi.

Mesach yagambye nti abantu oluusi boogera nnyo nga tebasoose kukola kunoonyereza ne weesanga nga omuntu akoze sitatimenti enkyamu kubanga. Yayongeddeko nti ssinga bye boogera ku muziki ono bituufu, yandibadde tafuna bantu mu bungi ng abwe baabadde.

Abawagizi Basanyuse E Zana Okulaba Ku Spice Diana Okukakana Ng'abamu Bamusitudde.

Abawagizi Basanyuse E Zana Okulaba Ku Spice Diana Okukakana Ng'abamu Bamusitudde.

Endongo gye yasumuludde e Nansana abazeeyi baayo teyabalese kye kimu okukkakkana nga batandise okuzina pakacini. Waliwo omulala eyalabibwako ng’agezaako okusitula omuwala ate waliwo omulala eyalabibwako ng’agezaako okusitula omuwala era nawaga nnyo ng’olwo endongo emusensedde.

Ababaka Ssegirinya ne Ssewanyana bacamudde nnyo abadigize abagenze ku Front Page bwe balinnye siteegi okufuuwa omuyimbi Maureen Nantume olwo  ne batemerayo dansi naye ng’eno enduulu mu bantu bw’ekubwa empitirivu.

Ono yasazeeko Ssegirinya ng'amulabye.

Ono yasazeeko Ssegirinya ng'amulabye.

Ssegirinya yasanze akaseera akazibu okuddayo mu kifo we yabadde atudde anti abakazi abatasoose kumulaba ng’agenda ku siteegi baamusazeeko nga balinga abamusaba abeeko by’abayambamu era naye yabawadde obudde.

Abayimbi okuli Spice Diana, Eddy Yawe, Sasha Brighton, Maureen Nantume n’abalala be baawerekeddeko Mesach nga yeebazizza abantu bonna abaamubeereddewo okukakasa nti ebivvulu bye biba bya maanyi.