OMUYIMBI Lydia Jazmine (Lydia Nabawanuka) atongozza olutambi olw’ennyimba 16, n’acamula abawagizi be.
Kataleya Ne Kandle Nabo Baabaddeyo.
Baabadde ku bbaala ya Noni Vie mu Kampala era Jazmine yakuhhaanyizza abamuwagira ne bamujagulizaako okufulumya olutambi luno.
Abamu baawuliddwa beesonsa nti bulijjo aboogerera omuyimbi waabwe nti yaggwaamu, na kati babiddemu. Omukolo gwabaddeko baanabawala abaalaze kye balinawo okutandikira ku mafiga, mmotoka ze bazze bavuga ne baddugaza emmeeza.