Looya wa Muhangi yeesomye okuggula omusango ku Bebe Cool olwa Zuena okunywa ebyokunywa mu Comedy Store n’awoomerwa kyokka n’atasasula

Baabadde mu kkooti ya City Hall, mu musango Bebe Cool mwe yaloopera Alex Muhangi, okukozesa ennyimba ze ku mitimbagano nga tamuwadde lukusa. 

Looya wa Muhangi yeesomye okuggula omusango ku Bebe Cool olwa Zuena okunywa ebyokunywa mu Comedy Store n’awoomerwa kyokka n’atasasula
NewVision Reporter
@NewVision
#Kasalabecca #Looya Muhangi #Zuena #Bebecool #Kunywa #Kuggula #Musango #Comdey store

LOOYA wa Alex Muhangi, yeesomye okuggula omusango ku Bebe Cool, olwa mukyala we Zuena okunywa ebyokunywa n’awoomerwa kyokka n’atasasula bwe yali mu kivvulu kya Comedy Store, kyennyini ate bba Bebe Cool mwe yagaanira okuyimba. 

Baabadde mu kkooti ya City Hall, mu musango Bebe Cool mwe yaloopera Alex Muhangi, okukozesa ennyimba ze ku mitimbagano nga tamuwadde lukusa. 

Nga March 19, omulamuzi yasooka kubalagira bagezeeko okukkaanyiza ebweru wa kkooti kyokka looya wa Muhangi yategeezezza kkooti eggulo nti bakyalemye okufuna Bebe Cool era guno omusango ne gwongezebwayo okutuusa nga April 10. 

Bino olwawedde, looya n’ategeeza nti ku lunaku Bebe lwe yagenda mu kivvulu kya Comedy Store n’atayimba ng’agamba nti tebamusasudde ssente ze kuzimalayo ate nga baamulinza mu paakingi okumala essaawa, ne mukyala we Zuena yali munda. 

Looya agamba nti ono yali ne mikwano gye, banywa kyokka ssente z’ebyokunywa eziweza emitwalo 90 tebaazisasula.

Yayongeddeko nti agenda na kussaamu n’omusango omulala, ogwa Bebe Cool okulyazamaanya Alex Muhangi bwe yamussa mu vidiyo y’oluyimba lwe olwa ‘Wakayima’ n’atamusasula ssente ze baalagaana.

Login to begin your journey to our premium content