Kasalabecca

Kafulu mu kufuuwa emirere akomyewo mu ggwanga

KAFULU mu kufuuwa omulere, Isaiah Katumwa olutonnye ku ekisaawe e Ntebe, n’awaga. 

Kafulu mu kufuuwa emirere akomyewo mu ggwanga
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

KAFULU mu kufuuwa omulere, Isaiah Katumwa olutonnye ku ekisaawe e Ntebe, n’awaga. 

Ono abadde mu America gye yagenda mu 2019 era abadde akola guno na guli wabula ng’afunawo akadde akafuuwa omulere naddala

ng’ali ku mutimbagano.

Abamu babitebya nti akomeddewo ddala ate abalala nti yapangisiddwa okuyimba ku kivvulu kya ‘Jazz’ nti era olunaakimala ng’addayo ku kyeyo. Bwe yatonnye ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe, yatageezezza nga bw’abadde asubwa Uganda nga n’abeerimbika mu kufuuwa omureere nga bawoza nti yagenda, ke kaseera beekaabireko kuba akomyewo na nkuba mpya.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Kasalabecca
Isaiah Katumwa
Ggwanga
kukomawo