Kasalabecca

Jowy Landa avumye omuwagizi eyamusabye ave ku siteegi nti by'ayimba tebinyuma

OMUYIMBI Jowy Landa yavudde mu mbeera ng’ali ku siteegi, n’avuma omuwagizi.

Jowy Landa avumye omuwagizi eyamusabye ave ku siteegi nti by'ayimba tebinyuma
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

OMUYIMBI Jowy Landa yavudde mu mbeera ng’ali ku siteegi, n’avuma omuwagizi.

 Yabadde mu bbaala emu ng’ayimba era omuwagizi omu n’ayisaamu eddoboozi erisaba Jowy Landa ave ku siteegi mbu by’ayimba bbo tebibanyumira.

Akatambi akaasaasaanide ku mutimbagano, Jowy Landa yalabise ng’abinyiigiddemu n’ayolekeza omuwagizi ebigambo n’amulangira nti akuliridde mu myaka nti era asaana kubeera waka so si mu bbaala
essaawa ezo

Tags:
Kasalabecca
Mawulire
Jowy Landa
Siteegi
Kunyuma