Kasalabecca

Jeff Kiwa adding’anye ne ffamire ya Bamayanja

MANEJA Jeff Kiwa ne ffamire ya Bamayanja, ebiriwo biraga nti badding'anye.

Jeff Kiwa adding’anye ne ffamire ya Bamayanja
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

MANEJA Jeff Kiwa ne ffamire ya Bamayanja, ebiriwo biraga nti badding'anye.

 

Ffamire ya Bamanyanja mwe muli omuyimbi Jose Chameleone, Pallaso ne Weasel. Kyokka engeri gye batijjamu ennaku zino oyinza okugamba tebaawulangako.

 

Okumanya bali bulala, Jeff yakoze oluyimba ne Chameleone era lutambula. Kyokka Jeff Kiwa ne Pallaso, baayawukana bubi nnyo.

 

Ababiri bano baali mu kibiina kya Team no Sleep ekyali kikulemberwa Jeff Kiwa era omwali ne Sheebah wabula ne baawukana bubi era ne poliisi yayingirawo okubataawuluza nga balwanira ennyumba ye e Makindye eya Neverland.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Bamayanja
Jeff Kiwa
Ffamire
Adding'anye