Kasalabecca

Eyayimba Nansikombi yeevuma abayimbi abanene

EMMANUEL Ssengonzi eyakazibwako erya ‘Masaka’ ate abalala bamuyita Nansikombi olw’oluyimba olwo, yeevuma abayimbi ba kadongokamu. 

Eyayimba Nansikombi yeevuma abayimbi abanene
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

EMMANUEL Ssengonzi eyakazibwako erya ‘Masaka’ ate abalala bamuyita Nansikombi olw’oluyimba olwo, yeevuma abayimbi ba kadongokamu. 

Agamba nti bukya akuba ye gye yayise ‘hiiti’ ey’oluyimba lwa ‘Nansikombi kyasimwa’, bazze bamulwanyisa n’okumwogerera ebisongovu mu bapulomoota abandimuwadde emirimu. 

Okumanya Nansikombi tawena, agamba nti amaze ebbanga ng’ali ku ndiri oluvannyuma lw’ekivvulu ekimu kye yalimu e Kalangala n’afuna okulumizibwa mu kugulu nti era omu ku bayimbi banne, y’ali emabega w’obulwadde buno.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Kasalabecca
Kuyimba
Nansikombi