JOWY Landa, ennaku zino atambula agaziwa.
Ng’oggyeeko okuba nti y’omu ku bayimbi abato abakoze obulungi omwaka guno, alinnye ne ku nnyonyi.
Yabadde agenda Rwanda gye yayitiddwa okusanyusa abantu mu kuggulawo ekifo ekimu ekisanyukirwamu.
Yeebazizza Jeff Kiwa okumuwa omukisa ogulinnya ku nnyonyi omulundi gwe ogusoose.