Joseph Tamale Mirundi eyaliko munnamawulire wa pulezidenti Museveni yeebazizza gavumenti olw’okumuweererera abaana be, ne basobola okutuukako we bali.

Akiram Ng'afuuwa Kulthum Ssente. Ku Kkono Ye Spice Diana Ng'abayimbira Ate Wakati Ye Wisdom Kaye
Bino yabyogeredde ku kabaga k’amatikkira ga mutabani we Joseph Tamale Mirundi Junior, ne Bridget Josephine Namuli, akaabadde ku Stallion Hotel e Nateete.
Junior yatikkirwa ddiguli mu mbeera z’abantu mu 2021, ate Bridget yakuguse mu byanfuna, nga y’omu ku baayitidde waggulu mu matikkira agaakaggwa e Makerere.

Wano Nga Basala Kkeeki.
Mirundi yasinzidde ku kabaga kano n’asiima eyaliko minisita w’ebyobusuubuzi, Amelia Kyambadde okumutwala ewa pulezidenti n’amuwa omulimu, nga kino kyakyusa bingi mu bulamu bwe, ne ffamire okutwaliza awamu.

Amelia Kyambadde N'omusumba Bugingo Ku Mukolo.
Abanene abalala abazze kwabaddeko Bebe Cool, Spice Diana eyakubye abantu omuziki, eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi, omusumba Aloysious Bugingo, muganda wa pulezidenti, Nzeire Kaguta, Kulthum Nabunnya n’owuwe Akiram Gumisiriza, n’abalala bangi.

Tamale Mirundi Ng'asala Ddansi N'omuyimbi Spice Diana, Wamu N'emikwano Gy'abatikkirwa Abaabadde Ku Mukolo.
Mirundi yagambye nti Kyambadde ne Ssekandi baava mu gavumenti nga tebabbye, nga ne bwe bandibawadde amabaati ga ofiisi ya ssaabaminisita tebandigakkirizza.
Bebe Cool yeebazizza Tamale Mirundi olw’ettofaali ly’atadde mu kumanyisa abantu, n’asaba gavumenti eteeke essira ku ttalanta z’abavubuka, kubanga tesobola kugabira buli omu mulimu.
Nzeire Kaguta yasesezza abantu bwe yagambye nti tayinza kudda ku ssomero, okutuusa nga baggyeewo ebibuuzo, kyokka ne yeebaza Mirundi okusomesa abaana be.
Yazze ayambadde akakoofiira akamyufu n’ategeeza nga langi ya NUP bwe baagiwambye, kyokka oluvannyuma n’alya ebigambo bye nti langi zaffe ffena, tewali azirinako bwannannyini.

Tamale Mirundi Ng'abuuza Ku Bebecool
Ye Amelia Kyambadde yakubirizza abaatikkiddwa okwewala okusalawo amangu mu bye bakola, kubanga kiyinza okubaleetera okutomera.
Tamale Mirundi Junior yeebazizza kitaawe okumusomesa, n’okugumiikiriza effujjo lye, eryamuleetera n’okuwaayirizanga abasomesa be, nga tayagala kusoma.
Yagambye nti yayagala kusoma mateeka, kyokka olw’abantu okulwala ennyo emitwe, yasalawo kusoma embeera za bantu.

Tamale Mirundi N'omu Ku Bakyala Be Ku Mukolo.
Tamale Mirundi yasesezza abantu, bwe yategeezezza nti omu ku bakyala be yamubba mu kidaala nga bamutwala nkeera, ng’okuva olwo abadde talabanga ku bassenga be, era baabamwanjulidde ku mukolo, n’abeetondera olw’ekyo kye yakola, kyokka n’abategeeza nti muwala waabwe gy’ali nayo waliyo ebirungi bingi.