Bya Emmanuel Ssebanenya
Ebiriwo kati Paul Kafeero yabiraba mu 1994!
Yakuba oluyimba lwa ‘’Walumbe Zzaaya’.
Walumbe Zzaaya atukola bwati,
Bakaabasajja b’otugumbula otyo
Oli wa ngeri ki atayisa balungi?
N'ab’essimbo n’obafagiya otyo!
Laba bw'olekawo ab’emitwe emiyaaye
Oli wa ngeri atamanyi bateefu?
Onkutulidde ne ggita nsula nkuyimba,
Kumaaniina ogira okubula w'osula
Oli mubbi nnyo mundeke mmulangire
Ggwe ate tunaayogera nga abali e bukoddomi?
N’owulira enduulu n’emiranga maama
N’abagagga lubasikambula mu mabenzi
Laba obwa mulekwa bwe bwefuze Obuganda!
Lwa ttima olutulesa amabujje,
Ne lufaakuuza n'abali e Buziizi
Ne lulindiggula n'abali mu bire eyo!
Lwa ndasi lulya n’abava e Bulaaya
Omutemu awenja ne munda z'abakyala
N'akuunyuulayo n'obutonde maama!
Ate takuba mmiisi n'obuto abugaaya
Nkugambye luzibu tulya nalwo eka
Ne mu bifo awasanyukirwa luli eyo kyema!
Luli mu nguuli gye twekeeserera eyo
Kale luzibu olw'etiba atamidde!
Kitalo , Kitalo yaaye yaaye
Kitalo
Kitalo nnyo, Kitalo baanabattu
Kitalo............................... n'ebirala
Bino bye bimu ku bigambo ebiri mu luyimba lw’omugenzi Paulo Kafeero olwa ‘’Walumbe Zzaaya’’.
Yalufulumya mu 1994 ndowooza ng’alaba banywanyi be baggwaawo n’okufumiitiriza ku ngeri olumbe gye lwali luttamu abantu nga terubasosola oba oli mwavu, olina ssente, oli mwavu, Omuzungu n’abalungi.
Kyokka ssinga oluyimba luno alukubye mu kiseera kino ng’ekirwadde kya Covid 19, kitugoya, wadde abalala bali mu maziga, obolyawo yandikoze ssente.
Oluyimba luno abantu abalina ebizindaalo ku byalo lwe bakozesa nga balanga omuntu afudde. Olw’abantu abangi abafa ennaku zino naddala obulwadde bwa COVID, oluyimba luno lukuba emirundi egisukka mu etaano buli lunaku kumpi mu buli kabuga w'oyita.