Bano bafunye omukisa okwerabira ku bayimbi baabwe okwabadde Chameleon, Juliana, Rema Namakula, King Saha n'abalala bangi ku mitwalo 2 gyokka ekintu ekibadde ekizibu okulaba abantu abo bonna wadde ku mitwalo 5 guno omwaka.
Juliana Kanyomozi Entertaining The Crowd At Calender In Makindye (1)
King Saha y'omu ku baasinze okucamula abadigize bwe yasudemu akayimba ke aka Zakayo olwo nno n’atandika okukolokota omuyimbi omu ku banene nga banne bwe baakola embaga ate nga ye yamulema.
Essanyu nga lijula okutta abawagizi.
Jose Chameleon
Eno bakubye omuziki okutuusa ku saawa 7:00 ogw’ekiro nga Chameleon ne Weasel be baggaddewo olunaku.
Rema Namakula ng'akuba ab'e Makindye omuziki.
King Saha ng'ayiymba.