EYALI omuli wa ssente ow’erinnya Shanitah Namuyimbwa amanyiddwa nga Bad Black alangiridde nga bw'agenda okwesimbawo ku kifo ky’omubaka omukazi owa Kampala mu 2031, ekirimu Shamim Malende owa NUP.
Bino yabyogedde ku Lwokuna lwa wiiki ewedde bwe yabadde awayamu ne bannamawulire. Yagambye nti ye muntu asaanidde okukiikirira Bannakampala naddala abakazi kubanga amanyi bulungi kye bayitamu.
Bad Black yagambye nti omubaka aliyo alemereddwa okukyusa obulamu bwa bakazi b’omu Kampala era ne yeeyama okukyusa obulamu bwabwe ng’atandikira ku bavubuka.
Ebigambo bya Bad Black byaleese ebbugumu ku mikutu emigatta bantu ng’abantu abamugoberera.