Omuyimbi Young Mulo alabudde eri Alien Skin, okukendeeza ku mudomo n'okufuga ebigambo bye, oba si ekyo naye ajja kugwa nga ye bwe yagwa.
"Wadde nga mukwano gwange, yeetaaga okwongera okwegendereza nga ayogera. Tosobola kwogera ku buli kimu; abamu ku ffe tubadde ku ntikko emabegako ne tuddayo wansi gye twatandikira. Asaana okuwa abawagizi ekitiibwa kubanga singa si bbo teyalibadde waali kati," Young Mulo bwe yalaze.
Endowooza ya Young Mulo teyawukana nnyo n'ey'abawagizi ba NUP abagamba nti alina okwetondera Bobi Wine olw'ebigambo bye yamwogerako bo bye balumiriza nti byali tebissa kitiibwa mu muntu waabwe.