Kasalabecca

Abtex aloopye Gloria Bugie ku by'okweyambula n'akunamira abantu ku siteegi!

OMUYIMBI Gloria Bugie ali mu kattu oluvannyuma lw’omutegesi w’ebivvulu Abbey Musinguzi amanyiddwa nga ‘Abtex’ okumuloopa ku poliisi lwa kweyambula n’akunama naddala ng’ali ku siteegi.

Abtex aloopye Gloria Bugie ku by'okweyambula n'akunamira abantu ku siteegi!
By: Ignatius Kamya, Journalists @New Vision

OMUYIMBI Gloria Bugie ali mu kattu oluvannyuma lw’omutegesi w’ebivvulu Abbey Musinguzi amanyiddwa nga ‘Abtex’ okumuloopa ku poliisi lwa kweyambula n’akunama naddala ng’ali ku siteegi.

Gloria Bugie ng’amannya ge amatufu ye Gloria Busingye muyimbi mupya. Abtex okumuwawaabira kyaddiridde akatambi k’obuseegu akaafulumye ne kasaasaanyizibwa ku mitimbagano nga kamulaga azina nga yenna ali bute. 

 

Mu bbaluwa Abtex gye yabawandiikidde ekitongole kya Poliisi ekivunaanyizibwa ku kunoonyereza emisangoku Lwokubiri, yategeezezza ng’omuze gw’obuseegu bwe gweyongedde ekisusse mu Uganda ng’abantu bakozesa yintaneeti ne basaasaanya ebintu ebitajja ate nga kino kikontana n’amateeka g’eggwanga mpozzi n’ennono n’okwonoona abaana.

Abtex yategeezezza nti Gloria Bugie mu mirundi egiwerako azze alabibwa mu bifo eby’enjawulo ng’ayimba ayambadde obugoye kyenkana obulaga omubiri gwe gwonna n’enkula ye era ekintu nga kino kisikiriza abasajja okumukwatirira ku siteegi era nti ye ayagala poliisi emunoonyerezeko era emugguleko emisango kwosa okumuggalira.

Bwe yabadde ayogerako ne Bukedde eggulo, Abtex yategeezezza nti teyakomya ku kya kuwandiikira poliisi yokka.

Ono eggulo era yatutte okwemulugunya kwe mu kitongole ekivunaanyizibwa ku biweerezebwa ku mpewo (UCC) era n’ategeeza nti yabadde tagenda kukoma awo.

“Ensonga eno nkulu era njagala ntuukirire buli gwe kikwatako omuli ne Minisitule y’okukwasisa empisa kwossa n’ey’ekikula ky’abantu kuba bonna njagala bagiyingiremu bunnambiro,” Abtex bwe yategeezezza ng’atuuse ku UCC.

Agamba nti ayagala omuwala ono akole ng’ekyokulabirako eri abantu bonna abaagala okwekolera erinnya nga bayita mu kusaasaanya obuseegu.

 

Tags:
Bugie
Muyimbi
Gloria
Bantu