Kasalabecca

Abaana bawala boolesezza emisono ne bacamula abalabi

ABAWALA boresezza emisono gy’engoye egy’enjawulo egicamudde abadigize nabo ne begomba okujambalako. Emisono egyayoreseddwa kuliko ejja ofiisi, egy’embaga, egiwerekera abagole, egy’obuwangwa n'emirara.

Baana bawala nga boolese emisono
By: Peter Ssaava, Journalists @New Vision
ABAWALA boresezza emisono gy’engoye egy’enjawulo egicamudde abadigize nabo ne begomba okujambalako.
Emisono egyayoreseddwa kuliko ejja ofiisi, egy’embaga, egiwerekera abagole, egy’obuwangwa n'emirara.
 
Ekivvulu ekyatuumiddwa “International Beautiful you fashion tour” kyabadde ku Theatre La Bonita ku ssande nga kyategekeddwa munnasi wa America era omwolesi w’emisono Williams Dewayne amanyiddwa nga Debonair.
Mwana muwala ng'ayolesa emisono

Mwana muwala ng'ayolesa emisono

 
Abawala baayolesezza engoye z’embugo, engoye ez’enjawulo ezigenda ku bubaga, engoye ezambalwa mu ofiisi ssaako neezo eziggyayo enkula y’omubiri.
 
Obwedda abawala bajja banekanekanye nga bwe bamodola ekyasanyudde abadigize era abamu baakubye nekubimyanso bya laavu.
 
Dewayne eyategese ekivvulu kino yagambye nti atambudde munsi ez’enjawulo kyokka yasazeewo aggyeko ne mu Uganda alabe bwayinza okukwataganya emisono gyayo eri amawanga amalala.
Emisono

Emisono

 
“Emyaka 28 egy’obumanyirivu gyennina mu mulimu guno era nnyambye bangi okubateeka ku maapu y’ensi yonna nabo ne benyumiriza mukworesa ssaako okumodola.
Era kyendabye wano kinsayusizza kuba waliwo ebyambalo byembadde siraba ngako.” Dewayne bweyayongeddeko.
Tags: