Omuwuwuttanyi wa Brighton atunda nga keeki eyokya

TTIIMU za Bungereza ennene ziri mu keetalo nga buli emu erwana okukansa omuwuwuttanyi wa Brighton, Yves Bissouma.

Omuwuwuttanyi wa Brighton, Yves Bissouma
NewVision Reporter
@NewVision

Omuzannyi ono y’omu ku bayimiriddeko amakkati ga Brighton sizoni eno era amaze akaseera nga ttiimu ezenjawulo zimwegwanyiza.

Nga sizoni eno egenda okuggwaako, kigambibwa nti omuzannyi ono yataddeyo okusaba kwe mu bakama be bamukkirize yeegatte ku ttiimu endala.

Ttiimu okuli; Liverpool, Arsenal ne Man City zitunuulidde omuwuwuttanyi ono enzaalwa y’e Mali.

Man City eri ku kampeyini ya kuggumiza makkati gaayo era enoonya musika wa Fernandinho alabika ng’akuliridde sso nga Arsenal eyagala muzannyi asobola okuzannya ne Thomas Partey enzaalwa ya Ghana.

Jurgen Klopp eri ku muyiggo gwa musika wa Georginio Wijnaldum. Ono waakwabulira Liverpool ku nkomerero ya sizoni eno yeegatte ku Barcelona oluvannyuma lw’endagaano ye mu Liverpool okuggwaako.

Amawulire gaategeezezza nti gye buvuddeko, Klopp yennyini yakola okunoonyereza ku muzannyi ono oluvannyuma lw’okumukwata omubabiro. Bissouma yava mu Lille eya Bufalansa mu 2018 kyokka okuva lwe yeegatta ku Brighton, omutindo gwa ttiimu gweyongera okulinnya.

Ng’oggyeeko ttiimu z’e Bungereza, Marseille eya Bufalansa ne ttiimu endala mu Bulaaya, zaagala okukansa omuzannyi y’omu.

Login to begin your journey to our premium content