Ince, eyazannyira ManU emipiira egisoba mu 200 agamba nti Aguero, Man City eyinza obutamwongera endagaano singa gy’alina mu June w’omwaka guno era guno gw’emukisa ManU gw’erina okumutwala.
ManU mu kaseera kano terina muteebi wa ntomo mu kiseera kino ate kijja kuba kibi singa Edinson Cavani gwe baaleeta ku bbanja anaasalawo okuddayo ku butaka nga sizoni eno eweddeko.
Ince wano w’asabidde Solskjaer akoppe amagezi ga Sir Alex Ferguson aleete Aguero kuba ne Fergie yagenda okulaba nga Eric Cantona eyali owa Leeds amwetaaga nnyo kwe kumukansa.
“Cantona yali wa maanyi nnyo mu Leeds kyokka Fergie n’atasumagira era kino kyayamba ManU okuwangula ebikopo,” Ince bw’agamba.
Omufalansa Cantona yawangulira ManU ebikopo bya Premier bina, FA Cup bibiri n’ebya Community Shield bibiri.
Mu bazannyi abalala Fergie be yaleeta nga bakuliridde ne bamuwangulira ebikopo kuliko; Henrik Larsson eyabawangulira Premier ya 2006-2007 ssaako Robin van Persie gwe baggya mu Arsenal ne bawangula Premier ya 2012-2013.
Wano Ince w’agambidde Solskjaer aleme kusumagira kuba Aguero muteebi mulungi ate muwanguzi wa bikopo.
ManU mu kiseera kino eri mu kyakubiri mu Premier ku bubonero 57 nga Man City ekulembedde ebasinga obubonero 14.