Bya BRUNO MUGOODA, JINJA
Oluvannyuma lw'olukiiko lwa kiraabu eno okutuula, ssentebe Rubens Tamale yategeezezza nga bwe bakkaanyizza okugoba omukwasi wa ggoolo Joel Mutakubwa ne kkapiteeni wa ttiimu Julius Ntambi .
"Twakizudde nti ababiri bano beenyigira mu kutunda emipiira, wabula twasazeewo tuzze Mustafa Mujuzi emmabali oluvannyuma ne tulabula ne Robert Ssentongo. Kino tukikoze nga twagala kuzza ttiimu yaffe ku mulamwa gw'okuwona ekyambe yadde nga tekibeere kyangu,"ssentebe Tamale bwe yagambye.
Kyetume FC eri mu kya 14 n'obubonero 19 wabula ng'egoba Wakiso Giants FC (23) ,Onduparaka (24), Busoga United FC wamu ne BUL FC , okusalawo ttiimu y'okusatu enaddayo oluvannyuma lwa Myda FC ne Kitara okulaga nti zo liigi erabika eziyinzizza obuzito
Liigi esigazizza emipiira 9.