Abatuuze, abasuubuzi n’abakozesa oluguudo oluva e Kyotera okudda ku mwalo gw’e Kasensero mu distulikiti y’e Kyotera bennyamivu olw’ennyanja Nalubaale okubooga nesalako oluguudo ekitundu kya kiromita mukaaga. Kati teri mmotoka esobola kusala kazibe ezo ezinona ebyennyanja okuva ku mwaalo.