Abasiraamu bajjumbidde okusaala Eid Al-Fitri. E Butambala bakungaanidde ku muzikiti gwa masigid madiina e Kikumbo ng’ow’ettwale lya West Buganda shk Juma Mawejje Kabanda yaakulembeddemu n’ayozayoza pulezidenti Museveni olw’okutuuka ku kulayizibwa olunaku olw’eggulo.