Wasuze otya nnyabo?
Bulungi ssebo, mpozzi ggwe.
Ng’okedde okunyiriri!
Ekitiibwa ky’omukyala kiri mu kunyirira.
Marion Mwine
Amannya go?
Onkeereddemu nnyo naawe! Amannya gange ogagaza ki?
Ondabikidde bulungi era muli mpulira ekintu kingamba nti nnina okubeera munno.
Ekyo kyokka! Obwo bwe buntu obutono bwe nsobola okwekolerako.
Kati si mu bubi mpa ku mannya go.
Marion Mwine
Odda wa nkuwerekereko?
Ngenda ku mulimu. Ku Nansana Business Center we nkolera naye saagala bamperekera.
Olwo okolayo biki?
Nninayo ebintu bye ntundirayo.
Olwo bw’oyogera by’okolerayo mba ngenda kukukola ki?
Tebirina kye bikugasa ate sitera kwagala kwogera bye nkola na muntu gwe simanyi.
Ndowooza nsooke nneeyanjule
Oluddewo
Ndi munnamawulire wa Bukedde. Kaakati nnyabo, biki by’okolera
e Nansana?
Ntunda engatto ez’abakulu n’abato ate nnina n’edduuka eritunda ebimuli. Anneetaaze...
Koma awo nnyabo. Bw’oba toli Nansana, kiki ekirala ekitwala obudde bwo?
Mba nzannya mizannyo na katemba
Mizannyo ki gye wali ozannyeeko?
Ndi mu ‘Sweet Punishment, Land Title, Youthfulness and Love nga gino nzannya nga ssita.
Akwagala akufuna atya?
Asooke agende alabe obuzannyo bwange ku ‘YouTube’ ndyoke mmanye nga bw’anjagala ennyo.
Mbuulirayo pulogulaamu bbiri, ezisinga okukunyumira ku Bukedde
TV?
Pulogulaamu ya Taasa Amaka go n’amawulire aga Agataliiko Nfuufu bye
bisinga okunkolera.
Ali atya oyo akuleeta akamwenyumwenyu ku matama?
Emikwano nnina mingi, egimpa ku nseko buli lwe mba ne situleesi.
Oba nze abuuzizza obubi! Kale, musajja ki gw’owulira gwe wandyagadde
okufumbirwa?
Omusajja alagikako mu bantu ate ng’atya Katonda. Ekisingira ddala obukulu, ng’agaba ssente. Atagaba ssente tokigeza okunsemberera.
Kati alina ebisaanyizo ebyo asembere weetegese?
Butereevu. Era yeetegeke okufuna omukyala amanyi omukwano, anaamussaamu
ekitiibwa ate ng’atya Katonda.
Comments
No Comment