Freddie Egesa omukugu mu kunoonyereza ku buzzi bw’emisango, agamba nti ensi buli lw’ekula mu by’enkulaakulana, okusoma, ne tekinologiya n’obuzzi bw’emisango ekula nabwo kubanga abamenyi b’amateeka bayiiya engeri y’okubeerawo mu mbeera ekyukakyuka.
Egesa annyonnyola nti ennaku zino obulamu bw’abantu butambulira ku tekinologiya nga tewakyali muntu yenna asobola kumwewala. Kino kitegeeza nti n’ababbi nabo
ba- lina kuyita mu tekinologiya okusobola okubba basobole okubeerawo.
Ate bwe kituuka ku ntambuza ya ssente kiyitirira, kubanga kati ssente ezisinga obungi
mu nsi zitambulira mu nkola ya tekinologiya ne yintanenti.
Egesa agamba nti osobola okutambuza obuwumbi bwa ssente ng’oli mu nnyumba yo ne bubuuka ensalo ne bugwa mu nsi endala awatali kutawaana, ekireetedde ababbi b’omulembe guno nabo okuteegera ku makubo ga tekinologiya awayita ssente zino basobole okwefunirako.
Embeera eno eyawukana ku babbi ab’emabega, abaateeganga abantu n’emmundu ne babanyagako ssente enkalu. Kati abantu tebakyatambula na ssente, era abateegera ku makubo tebakyakola, abateegera ku yintanenti be basobola okufunamu ennyo kati
EKIRINA OKUKOLEBWA
Egesa yawadde amagezi nti abantu balina okuyiga okusiba obulungi kkuffulu eziggala ssente eziba ku ssimu kubanga bwe ziba ziragaya ssente zo oba tozifuddeeko.
Yawadde ekyokulabirako nti essimu engeri gy’efuuse buli kimu, abantu bagikozesa okusasula ebintu bye baba baguze, okusindikira abaagalwa obuyambi n’ebirala, nti kyokka bw’oba okola bino, buli kadde oba oggulawo kkufulu nga bw’ogiggala ekiyinza okuyamba abaculi okumpi okukubba nga tomanyi.
Egesa agamba nti buli lw’okizuula nti ennamba yo ey’ekyama ekuyingiza awali ssente zo wayinza okubaawo agitegedde, yanguwa mangu okugikyusa.