Amawulire

Abatuuze bagudde ku mulambo gw'omuntu eyattiidwa n'asuulibwa ku bbali w'ekkubi

ABATUUZE ku kyalo Wambaale ekisangibwa mu diviizoni y’e Gombe mu munisipaali y’e Nansana bagguddemu ekyekango bwe basanze omusajja gwe batategeera nga bamusse omulambo gwe ne gusuulibwa mu kasaka.

Abatuuze bagudde ku mulambo gw'omuntu eyattiidwa n'asuulibwa ku bbali w'ekkubi
By: Wasswa Ssentongo, Journalists @New Vision

ABATUUZE ku kyalo Wambaale ekisangibwa mu diviizoni y’e Gombe mu munisipaali y’e Nansana bagguddemu ekyekango bwe basanze omusajja gwe batategeera nga bamusse omulambo gwe ne gusuulibwa mu kasaka.

Attiddwa tategeerekese linnya era omulambo gwe gulabiddwa abayizi ababadde bakedde okugenda ku ssomero nga bano bayise abatuuze abalala nabo abazze nga bano bayise poliisi y’e Matugga ezze n’eggyawo omulambo ne gutwalibwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago.

Abatuuze bagambye nti omusajja ono tamanyikiddwa mu kitundu kyabwe kuba kyandiba nga bamuleese buleesi ne bamusuula mu kifo kino.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire agambye nti poliisi etuuse ne yeekebejja omulambo nga kiraga nti omuntu ono batuze mutuge era nga kati balindirira alipoota y’abasawo.

Wabula, asabye abantu abayinza okuba nga babuuiddwako abantu baabwe bagende ku poliisi y’e Matugga esobole okubannyonnyola ebisingawo wano nga bwe bakyagenda mu maaso n'okunoonyereza.

Tags:
Mulambo
Kusuulibwa
Batuuzee