Okusimba amabanda kye kinaayamba ku kutangira okubumbulukuka kw’ettaka e Bududa ne Bugisu

14th August 2023

MU kaweefube w’okutangira okubumbuluka kw’ettaka mu nsozi z’e Bugisu, okusingira ddala e Bududa ettaka gye lisinga okukosa

Okusimba amabanda kye kinaayamba ku kutangira okubumbulukuka kw’ettaka e Bududa ne Bugisu
NewVision Reporter
@NewVision
#Amawulire #Elgon National Park. #Bududa
192 views

MU kaweefube w’okutangira okubumbuluka kw’ettaka mu nsozi z’e Bugisu, okusingira ddala e Bududa ettaka gye lisinga okukosa, abaayo basazeewo okuyiiya engeri gye bayinza okutangira ekizibu kino n’okufi irwa obulamu bw’abantu.

Endokwa za mabanda.

Endokwa za mabanda.

Bukya kubumbulukuka kuno kutandika mu 2010, abantu abakunukkiriza 6,000 be bafiiridde mu mmumbulukuka ez’enjawuloi mu disitulikiti okuli; Bududa, Sironko, Manafa ne Bulambuli ettaka gye lisinga okubumbuluka ne likosa abatuuze.

Kino kyavaako Gavumenti okulagira abantu ababeera mu bitundu awabumbulukuka ettaka okuvaayo abamu ne batwalibwa e Kiryandongo, abalala e Bunambutye mu disitulikiti y’e Bulambuli nga bataasa obulamu.

Kyokka abasinga eno baddukayo dda ne bakomawo e Bududa nga bagamba nti, ettaka lyabwe wadde libumbulukuka naye ggimu okusinga gye baabasengulira ku nkalajje. Abatuuze baasimba emiti omuli kalittunsi n’emirala, naye emiti gye baasimba ate ettaka nga bwe libumbulukuka gyonna tewaba gusigala gyonna gisiguluukuka.

Emiti gya kalittunsi egisiguukulukuse olw’ettaka okubumbulukuka.

Emiti gya kalittunsi egisiguukulukuse olw’ettaka okubumbulukuka.

Wabula kye baazudde ng’ebitundu awali amabanda ettaka teritwalibwa kuyigulukuka kwa ttaka, wano abatuuze nga bakulemberwamu omubaka omukyala ow’e Bududa era nga ye minisita omubeezi ow’e Karamoja, Agnes Nandutu ne battukiza okusimba amabanda kubanga gakwata ettaka nga gajja kusobola okulitangira okubumbulukuka.

Ekirala amabanda kyabugagga kubanga bagakolamu ebintu bingi. Gakula bulungi nga gali wamu. n’emmwaanyi ssaako ebitooke, era mu bbanga lya myaka etaano, Bududa bajja kuba banoga ssente mu mabanda ge beesimbidde.

Basaba Gavumenti ebakkirize basomese abatuuze ku kulima amabanda gano. Mu lusimba luno baatongozza okusimba endokwa emitwalo etaano, naye nga bakyayongera okusimba mu Masaza mukaaga nga beetaaga kusimba endokwa ezisoba mu kakadde akalamba.

Mu kutongoza kaweefube w’okusimba amabanda, minisita Nandutu ategeezezza ab’e Bududa nti, Pulezidenti Museveni agenda kuzimba ekyuma ky’empapula wano mu Uganda kyokka empapula zikolwa mu mabanda.

Amabanda galimu ebika bingi omuli ne ge balyako amaleewa nga gano gakula mu Bugisu wokka era gali mu kkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park.

Ekizibu ekiri eno, abaserikale ba UWA tebabakkiriza kugendayo ate bangi baliiriddwa ensolo enkambwe okuli empologoma.

Okwewala bino byonna amabanda gano bagenda kugeesimbira era bagenda kwongera okusimba ag’amaleewa nga buli omu agasimba mu nnimiro ye ne ku mbalama z’emigga ssaako ku ntikko y’ensozi awava ettaka okubumbulukuka.

Amabanda kibalo kya maanyi kubanga gavaamu ebibajje, amanda, ensawo, ebisero, eddagala, ebizigo n’ebintu ebirala bingi. Bududa egenda kuba nga ye disitulikiti esinga okulima amabanda mu Uganda.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.