Emboozi

Obulabe obuli mu kusiba yingini y’emmotoka emirundi egiwera

YINGINI gwe mutima gw’ekidduka, singa ebaako obuzibu mmotoka etandika okufuna emize egitali gimu okuli; okunywa amafuta, okukyusa eddoboozi,  enywa woyiro  ng’abasinga bwe balaba obubonero buno baddukirawo mu galagi ne bagisiba.

Bamakanika nga batereeza yingini.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

YINGINI gwe mutima gw’ekidduka, singa ebaako obuzibu mmotoka etandika okufuna emize egitali gimu okuli; okunywa amafuta, okukyusa eddoboozi,  enywa woyiro  ng’abasinga bwe balaba obubonero buno baddukirawo mu galagi ne bagisiba.
Wabula, makanika Gerald Kyabaggu e Makerere-Kavule laze obulabe obuli mu kusiba
yingini enfunda eziwera.
Buli lw’osiba yingini enfunda eziwera, waliwo ebyongera okwonooneka, okugeza safuta ekendeera mu sayizi, mmotoka eyongera okubuza amaanyi, egaziwa ebituli bya lingi n’eziba nga tezisobola kukwata woyiro, eyongera ku bungi bw’amafuta g’obadde onywa, etandika okucamuka n’etta ffaani olw’okuba ziba zikozesa amaanyi mangi,
nnatti ziggwaako enjola yingini n’etandika okutonnya. Tulina ebika ebiwerako ebya yingini wabula ekya Aluminum ne Chastain by’ebisinga wano, ng’ekya Aluminium kirimu yingini ya 1AZ , 1NZ nga zino zibeera Harrier, Wish, Raum, ekika kino eyitamu mangu ebbugumu. Singa etandika okulaga obubonero bwa yingini efudde kyandibadde kirungi n’ogula yingini endala kuba ne bw’ogisiba eyinza okugaana okutereera.
Chastain ekika kino kirimu yingini ya 1KZ eno ebeera mu Super Custom ne TX n’endala; yingini ya 3L, 5L zibeera muyingini zino singa eba efudde osobola okugisiba  mulundi gumu bw’eddamu okufa oba olina kugula ndala.
Obuzibu obulala bwe tulina wano, sipeeya gwe baleeta abeera nnamba bbiri tabeera
mu ‘oligino’ nga kino kivuddeko abantu bangi okulemwa mmotoka kuba omuntu asobola
okuteeka sipeeya mu mmotoka enfunda eziwera ekirwadde ne kigaana okutereera, era abamu bafundikira bazitunze abalala ne bazisimba awaka

Tags: