Emboozi

Ebitera okwonooneka ku mmotoka ng’ecamuse

EMMOTOKA yonna buli lw’ecamuka ebaako ebyuma ebyonooneka  singa omugoba waayo tayanguwa kugikanika n’agizza ku kkubo, ate esobola okuvaako okukola obubenje obulala.

Bamakanika nga beekebejja emmotoka okulaba oba eri mu mbeera nnungi.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

EMMOTOKA yonna buli lw’ecamuka ebaako ebyuma ebyonooneka  singa omugoba waayo tayanguwa kugikanika n’agizza ku kkubo, ate esobola okuvaako okukola obubenje obulala.
Ekidduka kyonna bwe kicamuka waliwo ebyuma nga nabyo bifiirako nga kino okukitangira olina okuba nga ogikuumira mu mbeera nnungi naddala ng’ogenderera
n’okwetangira okukola ebiyinza  okugiviirako okucamuka.  Abas Nsubuga, makanika ku  S.G garage e Luzira agamba nti, singa emmotoka ecamuka nga omugoba agivuga waliwo ebyuma nga byo biteekwa buteekwa okuba nga bifunye obuzibu, nga byagala
kukanika oba nga bivudde ddala nga birina kukyusibwa.
BY’OKEBERA SINGA EMMOTOKA YO  ECAMUKA
l Sirinda heedi : Eno singa  emmotoka ecamuka y’emu ku bisooka okufa. Eno omugaso gwayo gwakutambuza mazzi agayamba  ku kukakanya ebbugumu ly’emmotoka. Kyokka singa emmotoka  ebeera yeetaaga amazzi gano nga tegaliimu mu Sirinda heedi kigiviirako nayo okukuba era n’efa. l Ladiyeta : Ladiyeta eyambako emmotoka okubeera n’ebbugumu  erisaanidde naddala ku yingini kyokka singa liyitirira naddala nga emmotoka efunye okucamuka, ebbugumu lisobola okugisukkako n’efa.
l Ffaani y’emmotoka : Eno esangibwa mabega wa ladiyeta nga eno y’ewoza amazzi agali mu ladiyeta kyokka singa emmotoka ecamuka ennyo nayo esobola okufa.
l Water pump : Kano omugaso gwako gwa kukuba mazzi okukkakkanya yingini, naye singa kafuna obuzibu kitegeeza nti, amazzi gabeera tegakyakubibwa. Emmotoka bw’ecamuka nga kano tekakyasobola kukuba mazzi kikaviirako okufa.
Emmotoka ng’ecamuse olina okugyegendereza ennyo kubanga ne bw’eba erimu amazzi mu ladiyeta gabeera gookya nnyo nga ne bw’oba oggudde boneti ekisaanikira kya ladiyeta tolina kukisumulula mu bwangu kubanga amazzi gabeera geesera nga gasobola okubaluka ne gakwokya

Tags: