Obujjanjabi obusookerwako singa omuntu abeera azirise

10th November 2023

OMUNTU okuzirika kibaawo ng’obwongo tebukyafuna musaayi gumala okumala akaseera akatono. Kino kireetera omuntu okugwa wansi nga takyasobola kuyimirira nga n’ebigenda mu maaso takyabitegeera.

Obujjanjabi obusookerwako singa omuntu abeera azirise
NewVision Reporter
@NewVision
#Obujjanjabi #omuntu #azirise

Bya Musasi waffe

OMUNTU okuzirika kibaawo ng’obwongo tebukyafuna musaayi gumala okumala akaseera akatono. Kino kireetera omuntu okugwa wansi nga takyasobola kuyimirira nga n’ebigenda mu maaso takyabitegeera.

Enjala, obulumi, okukoowa ennyo, okuyimirira ekiseera ekiwanvu, oba okutuula ennyo wansi ebbanga eddene, bisobola okukuviirako okuzirika.

Okusinziira ku mukutu gw’eddwaaliro lya Mayo Clinic, ogwa https://www.mayoclinic.org/ omuntu bw’azirika n’agwa wansi, mugolole bulungi ng’omutwe gutunudde waggulu, ositule amagulu ge ogawanike, kimuyambe okussa obulungi.

Musumulule omusipi, bw’aba mu ssaati gisumulule amapeesa, era bw’aba ayambadde engoye ezimukutte zimuggyeemu asobole okussa obulungi. Tokkiriza bantu kumwetooloola kubanga bamuleetera ebbugumu. Bw’aba azirikidde mu nnyumba ggulawo amadirisa gonna asobole okufuna empewo.

Bw’adda engulu, toyanguwa kumuggyawo wansi kubanga ayinza okuddamu n’azirika. Singa alemererwa okudda engulu, mu ddakiika nga emu, mwetegereze olabe oba akyassa, bw’aba tassa mukwateko mpola ogezeeko okuzuukusa omutima gwe, ng’onyiga ku kifuba kye n’ekibatu kyo kyonna emirundi nga 30, omale omufuuwe omukka mu kamwa, kimuyambe okutandika okussa obulungi (enkola eno emanyiddwa nga Cardiopulmonary resuscitation (CPR). Oluvannyuma mutwale mu ddwaaliro

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.