MU KAWEEFUBE w'okukuza omugigi oguzimbiddwa ku kutya mukama wamu n'empisa ekibiina ki Campus crusade for Christ International kisabuukuludde pulojekiti y'okuzannya filimu ya Yesu ey'abato (catoon) .
Omukolo guno gubadde ku Makerere University freedom Square nga mukyala woomukulembeze w'eggwanga minisita Janet Kataha Museveni yabadde omugenyi omukulu .
Filimu ya yeesu y'emu kwezo ezisinze okulabibwa ku yintanenti nga yakalabibwa abantu obuwumbi 11 okuva lweyafulumizibwa mu mwaka gwa 1979.
Minisita Janet Kataha Museveni yeebazizza abo bonna abeetabye ku mukolo nga basabukulula filimu y'abato eno..
Ategeezezza nti ku nnimi 2100 ezikyusiddwamu filimu ya yesu , ennimi 35 zaffe wano mu Uganda.
Ategeezezzza nti essira mu filimu liri ku maka ,okubuulira enjiri n'okuyigiriza emigigi egijja empisa .
Okwawukanako ne filimu z'abato endala eno eyogera ku bulamu bw'omuntu obwaliwo obwaddala era obwaliwo mu biseera ebyedda.
Asiimye abo bonna abeegasse okukola filimu eno nga mwabo mulimu omukungaanya owookuntikko owa Vision Group Barbra Kaija , Life Ministries Uganda abeegatta ku gavumenti okukuuma amaka
Awadde obweyamu eri abakola ku filimu eno nti bajja kugiraga mu theatre za Uganda zonna .
Filimu y'abato eno yakufulumizibwa mu Decemba wa 2025 nga emaze okuteekebwateekebwa bulungi . Era nga abantu n'ebitongole eby'enjawulo by'egasse wamu okulaba nga omulimu guno guggwa mu kiseera ekitali kiwanvu